kasana · 2019-07-07 · omutukuvu paapa francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e vatican....

12
KASANA KASANA A PUBLICATION OF KASANA - LUWEERO DIOCESE PRICE: 2000 JULY 2019 BULLETIN KASANA CATHEDRAL Okulamaga kw’e Waluleeta okw’awamu okw’omwaka guno kusaziddwaamu Okulamaga okw’awamu okw’e Waluleeta okw’om- waka guno kwasaziddwamu. Kayungirizi w’emirimu gy’obutume mu Ssaza lya Kasana-Luweero [Pastoral Coordinator] Rev. Fr. Denis Ssebuggwaawo y’ategeeza ‘Kasana’ ku lwa nga 13 June 2019 mu nsisinkano mu wofiisi y’ebyempulizigamya nti: “Kituufu kyewawulid- deko nti okulamaga kw’omwaka guno okw’e Walu- leeta kusaziddwaamu,” bweyagamba. Yawa ensonga: “Omanyi waliwo olukiiko olugatta Abeepisikoopi bonna okuva ku lukalu lwa Africa awamu, n’Eggwanga lya Madagascar nga luyitibwa The Symposium of Epis- copal Conferences of Africa and Madagascar (SECAM) olugenda okutuula wano mu ggwanga lwaffe okuva nga 19 July okutuuka nga 29 July, 2019.”Ku ntikko y’olukiiko olwo waakubeerawo okujaguza emyaka 50 bukyanga SECAM etondebwaawo. Fr. Ssebuggwaawo y’agamba nti enteekateeka z’olukiiko olwo ziriko en- geri gyezaaleeteddemu enteekateeka za Bishop P. Ssemogerere nga awayaamu kko n’omu ku balamazi okwaliwo nga 29 July 2018 nga Omuserikale wa Paapa Mw. Joseph Lwevuze ali kumpi awo.

Upload: others

Post on 16-Jul-2020

6 views

Category:

Documents


0 download

TRANSCRIPT

Page 1: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

KASANAKASANAA PUBLICATION OF KASANA - LUWEERO DIOCESE

PRICE:2000 & JULY 2019 BULLETIN

KASANA CATHEDRAL

Okulamaga kw’e Waluleeta okw’awamu okw’omwaka guno kusaziddwaamu

Okulamaga okw’awamu okw’e Waluleeta okw’om-waka guno kwasaziddwamu. Kayungirizi w’emirimu gy’obutume mu Ssaza lya Kasana-Luweero [Pastoral Coordinator] Rev. Fr. Denis Ssebuggwaawo y’ategeeza ‘Kasana’ ku lwa nga 13 June 2019 mu nsisinkano mu wofiisi y’ebyempulizigamya nti: “Kituufu kyewawulid-deko nti okulamaga kw’omwaka guno okw’e Walu-leeta kusaziddwaamu,” bweyagamba. Yawa ensonga: “Omanyi waliwo olukiiko olugatta Abeepisikoopi

bonna okuva ku lukalu lwa Africa awamu, n’Eggwanga lya Madagascar nga luyitibwa The Symposium of Epis-copal Conferences of Africa and Madagascar (SECAM)olugenda okutuula wano mu ggwanga lwaffe okuva nga 19 July okutuuka nga 29 July, 2019.”Ku ntikko y’olukiiko olwo waakubeerawo okujaguza emyaka 50 bukyanga SECAM etondebwaawo. Fr. Ssebuggwaawo y’agamba nti enteekateeka z’olukiiko olwo ziriko en-geri gyezaaleeteddemu enteekateeka za

Bishop P. Ssemogerere nga awayaamu kko n’omu ku balamazi okwaliwo nga 29 July 2018 nga Omuserikale wa Paapa Mw. Joseph Lwevuze ali kumpi awo.

Page 2: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

2

KASANA JULY 2019, BULLETIN

VISION: Crescamus in Vitam Christi [Eph.4:13]

MISSION: Being faithful and relevant to the Church’s Mission

SYNOD II THEME:“Deeper family Evangelization in Justice, Peace and

Reconciliation for our growth in the life of Christ”

THIS YEAR’S [2019] THEME:“Tunnyikire, Tukole, Tujaguze”

Contents [Endagiriro]1. Obubaka bw’Omukungaanya2. Okulamaga kw’e Waluleeta okw’awamu okw’omwaka guno kusaziddwaamu 3. Akulira eby’amawulire mu Ssaza wa akujaguzaemyaka25mubusaserdooti4. Omusumba P. Ssemogerere asabye Deanery y’e Nakaseke okukulaakulanya Lukumbi5. Ebitonotono ebikwata ku mujulizi Donozio Omutuukirivu:

6. Abaana 192 bafunye Esakramentu lya KonfirmansiongaMulajjeParishekuza olunaku lw’Ekifo7. MuwagireRadioMaria,abakristu bakubiriziddwa8. Essaza likuzizza olunaku lw’Abaami9. EssomerolyaSt.Peter’sSec.Sch. Bombo-Kalule liwangudde empaka z’ennyimba10. Olukungaana lw’abavubuka luleme kutu buzisamuliro,Fr.Dr.Kimbowaakuutidde akakiiko akategeka ekijaguzo ky’Essaza eky’emyaka 2511. Aba Caritas bayonjezza ekibuga ky’e Kiwoko12. Okutenderezaobulungi,kitukakatakoffenna, buliomu,okwegattakuKristutusobole okwewaayo nga ekitambiro ekisanyusa Katondawaffe13. ToofferasacrificepleasingtotheFather,we havetojoinoursacrificestoChrist,writes Rev.Fr.CelestineByekwaso

END!

Abantu ba Katonda mwenna tubalamusizza nnyo! Tubakulisa okuyita mu mwezi gwa June. Abafuniddemu ebizibu tubasaasidde, ate abatuuse ku birungi nammwe tubayozaayoza. Nziramu okuibajjukiza nti enteekateeka z’olukungaana lw’Abavubuka olw’Eggwanga wansi wa Klezia Katolika nga lugenda kukyazibwa Essaza lyaffe erya Kasana-Luweero zigenda mu maaso. Olukungaana olwo olusuubirwa okwetabwamu abavubuka abasukka mu 5000 lwakubeerawo okuva nga December 10-15, 2019. Tubasaba enteekateeka zino ffenna tuzeenyigiremu. Tubaagaliza okusoma obulungi akatabo kaffe kano ‘Kasana’ ak’Amawulire g’Essaza ag’omwezi. Abatuwadde obulango mwebale nnyo, mwebalire ddala, tusiimye bwongerwa. Omukama abatuweere omukisa.

N.B: Bwoba olina ensonga yonna ku katabo kano ntuukirira ku ndagiriro eno wammanga;

Bernard BakaluPhone contact [s] 0773-058-220/ 0701-399-026 [Whatsapp]Email: [email protected]

Obubaka bw’Omukungaanya

Page 3: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

3

KASANA JULY 2019, BULLETIN

CONTINUED FROM PAGE 1Waluleeta okukyuusibwaamu kko ku mulundi guno.Wabula y’akubiriza Abakristu okusigala nga balamaga e Waluleeta mu mbeera ezaabulijjo.Essaza lya Kasa-na-Luweero ly’akafuula kalombolombo okulamaga ku Kiggwa ky’Omujulizi Kizito Omuto Omutuukirivu buli Ssande esemba mu mwezi gwa July.Ekiggwa ekyo kisangibwa Waluleeta mu Parish y’e Nandere.Omujulizi Kizito era ye muwolereza w’Essaza lya Kasana-Luweero.

Ebitonotono ebikwata ku lukiiko

olwo:Lwatondebwaawo Abeepisikoopi okuva ku lukalu lwa Africa nga bano bwebaali mu lukiiko lwa Vatican Council II (1962-1965) baasalawo okutandikawo enteekateeka nga eri ku mutendera gwa Africa

yonna nga ekigendererwa kyali kya kuleeta Klezia ebeere bumu awamu n’okukolagana mu kutumbula ogw’obuweereza mu kubunyisa Evanjiri. Olukiiko olwo lwatogozebwa nga 29 July 1969 ku lutikko e Lubaga nga Omutukuvu Paapa Pope Paul VI yeeya-kola omukolo ogwo.Ku lw’ensonga nga eyo, olukiiko olugatta Abeepisikoopi mu ggwanga lwawebwa obu-vunaanyizibwa okukyaza olukiiko lw’omwaka guno, mu ngeri y’emu lukole ku nteekateeka z’ekijaguzo ky’emyaka 50. Okusinziira ku akulira eby’amawulire ku lukiiko lu Uganda Episcopal Conference Rev. Fr. Philip Odii, ‘Kasana’ yategeezeddwa nti abagenyi abasuubirwa basoba mu 400. Muno mulimu ba Kalidinaali, ba Ssaabasumba, Abeepisikoopi, n’aba-lal okuva ku lukalu lwa Africa awamu ne wabweru waalwo. Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican.

Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018.

Page 4: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

4

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Ku Ssande nga 16 June 2019, Abakristu okuva mu bitundu by’Essaza lya Kasana-Luweero eby’enjawulo baalamaga e Lukumbi mu Parish y’e Kiwoko. E Lukum-bi, wewaali wazaalibwa omu ku bajulizi ba Uganda Donozio Ssebuggwawo.Omusumba w’Essaza lya Kasana-Luweero Paul Sse-mogerere yeeyakulemberamu Missa. Bweyali ayigiri-za, yakubiriza abakkiriza okukolera awamu kubanga kyekijja okusobozesa enkulaakulana: “Omukama atuy-igiriza olwa leero nti yatutonda naffe tukolere wamu. Ku bwaffe ffeka tebusobola okuzimba ensi eno ate n’obwakabaka bwa Katonda wabula kino tukikolera wamu ng’omubiri gwa Kristu.”

Okulamaga kuno kwaliwo ku lunaku lw’okukuza Trinita Omutuukirivu, era abalamazi n’abagamba nti: “Twes-abire nga tukuza olunaku lwa Trinita Omutukirivu tu-labire ku Donozio Omujulizi okulaga abalala okwagala kwa Trinita ate n’okukolera awamu okuzimba obwaka-baka bwa Katonda.”Mu kulamaga okwo ensimbi ezisoba mu kakadde ka siriingi kamu zeezasondebwa okudduukirira ensawo eyamba Abaseminario.Bishop Ssemogerere yasaba Deanery y’e Nakaseke okukola kaweefube w’okukulaakulanya Lukumbi asobole okutinta.

Ebitonotono ebikwata ku mujulizi Donozio Ssebuggwawo Omutuukirivu:

Akulira eby’amawulire mu Ssaza waakujaguza emyaka

25 mu busaserdooti

Ku Lwomukaaga nga 20 July 2019 Rev. Fr. John Mary Mpoza akulira eby’amawulire mu Ssaza lya Kasana-Luweero waakujaguza emyaka 25 mu busaserdooti. Omukolo gwakubeera ku Parish y’e Mulajje nga gwakitandika n’ekitambiro kya Missa eky’okwebaza ku ssaawa 4 ezooku-makya. Omujaguza yafuna Obusaserdooti mu mwaka gwa 1994.

Omusumba P. Ssemogerere asabye Deanery y’e Nakaseke okukulaakulanya Lukumbi

Donozio yayagala Katonda n’omutima gwe gwonna era teyatya kusoma ddiini. Wadde Kabaka Mwanga yali tayagala basomi naddala abo abaali bakola mu Lubiri lwe, Donozio yebbiriran-ga n’agenda asomesebwa Yozefu Mukasa. Yozefu Mukasa nebweyattibwa, Ssebuggwawo teyalekayo kusoma wabula yeeyongera mu maaso era n’asaba n’okubatizibwa, kwe kumu-wa erinnya Donozio (Denis). Donozio era olw’okwagala Ka-tonda, yayagala nnyo banne beeyakolanga nabo mu Lubiri era yafuba nnyo okubakyusa okusoma eddiini. Mwafu, mutabani wa Katikkiro, yali omu ku abo beeyasomesa eddiini. Era okusomesa Mwafu eddiini kye kyavirako Ssebuggwawo okufa kuba Kabaka bwe yava mu kuyigga envubu, amale aleme kufunayo n’emu, natasanga wo mukozi yenna nga ne Mwafu kw’otadde, yanyiiga nnyo nti Mwafu omulenzi gwe yali yeesiga ennyo naye yali atan-dise okusoma eddiini. Ssebuggwawo eyali atutte Mwafu ewa Kisuule okusoma eddiini yakubibwa nnyo Kabaka era n’afumitib-wa n’effumu, wadde teyafiirawo, ate enkeera n’atemebwaako omutwe. Donozio yayagala Katonda ne bantu banne okutuuka okufa obujjulizi.

Bishop P. Ssemogerere n’abamu ku basaserdooti mu Missa y’okulamaga

e Lukumbi

Page 5: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

5

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Abakristu basabiddwa okuwagira omukutu gw’ebyem-puliziganya ogwa Klezia Katolika ogumanyiddwa nga Radio Maria gusobole okuyimirirawo obulungi nga guweereza. Okusaba kuno kw’akoleddwa abakungu okuva ku Radio eyo ku lwa nga 29 June 2019 ku kitebe ky’Essaza e Kasana. Baali bazze okwongera okubunyisa amawulire agakwata ku mukutu gw’ebyempuliziganya

ogwo eri abakkiriza mu Kasana-Luweero. Baategeeza nti Radio Maria terina pulojekiti eyingiza nsimbi, era ey-imirirawo ku buwagizi obuva mu bakkiriza. Baasaba nti oli bw’aba abadde awaayo okugeza shs2,000 waakiri akubiseemu aweeyo shs4,000 kisobozese okukola ku byetaagisa okuyimirizaawo omukutu ogwo nga gusa-saanya amawulire agasanyusa.

Abaana abawerera ddala 192 beebafuna Esakramentu lya Konfirimansio ku lwa nga 15 June 2019 Parish y’e Mulajje bweyali ekuza olunaku lw’ekifo. Omusumba w’Essaza lya Kasana-Luweero Paul Ssemogerere yeeka-kola omukolo ogwo, nga teyakoma okwo, era yagatta emigogo gy’abagole 13. Ku kijaguzo kye kimu, ensimbi ezisoba mu bukadde 30 zezaasondebwa okudduukiri-

ra eddimu ly’okuddaabiriza Klezia. Bweyali ayigiriza, Bishop Ssemogerere yasaba abakulembeze okukaat-iriza ennyo Omulamwa gw’omwaka guno oguvuga nti: Tunnyikire, Tukole, Tujaguze. Guno omulamwa gwegututeekateeka mu bikujjuko by’ekijaguzo ky’Es-saza eky’emyaka 25 ekiribeerawo ku lwa Ssande nga 6 March, 2022.

Abaana 192 bafunye Esakramentu lya Konfirmansio nga Mulajje Parish ekuza olunaku

lw’Ekifo.

Emigogo gy’abagole nga giri mu kugattibwa e Mulajje

Muwagire Radio Maria, abakristu bakubiriziddwa

Abakristu nga babawa ebbaasa mwebannateeka obuyambi bw’ensimbi okudduukirira Radio Maria.

Abamu ku bakayungirizi b’emirimo gya Radio Maria mu Kasana-Luweero [okuva ku ddyo] ye Musomesa Stephen

Kasiita, Charles Nsereko n’abalala.

Page 6: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

6

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Essaza likuzizza olunaku lw’AbaamiKu Ssande nga 29 June 2019 ebikumi n’ebikumi by’Abaami okuva mu Parishes ez’enjawulo okwetoloola Essaza lya Kasa-na-Luweero byeyiwa ku kitebe ky’Essaza e Kasana ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Abaami. Olunaku luno lubadde luludde nga terukuzibwa. Ky’ategeezeddwa nti kino kibadde kitutte ku myaka egiwera. Omukolo guno gw’atandika n’ekitambiro kya Missa mu lutikko nga Omusumba wa Kasana-Luweero Paul Ssemogerere yeeya-kikulemberamu. Bweyali ayigiriza y’agam-ba abaami nti mwennyamivu olw’abakya-la ensangi zino okubeera nti beddizza obuvunaanyizibwa bwaabwe: “Abakyala batutte obuvunaanyizibwa bw’abasajja obusinga, okugeza okusasula ebisale by’abaana eby’essomero, okubambaza, okubatwala mu ddwaliro nga balwad-de n’ebirala.” Bishop Ssemogerere era y’agamba nti: “Abakyala baagala basajja bennyini, abalimu embavu, beera musajja, ani y’awasa ani?” bweyabuuza. Chaplain w’Abaami mu Ssaza [Men’s Guild] Rev. Fr. Achilles Ssemakula y’agamba nti: “Nsaba Abaami kyetutandise olwa leero, tuleme kuddiriza. Abaami mmwe Lwazi Eklezia kwazimbiddwa, tujjenga tubeere wamu.”

Bishop P. Ssemogerere nga abuuza ku baami wabweru wa Lutikko y’e Kasana oluvannyuma lwa Missa y’olunaku lwaabwe.

Bishop P. Ssemogerere mu kifaananyi eky’awamu n’abamu ku baami mu kukuza olunaku lwaabwe.

Essomero lya St. Peter’s Sec. Sch. Bombo-Kalule liwangudde empaka z’Okuyimba

Ku Lwomukaaga nga 22 June 2019, waaliwo empaka z’okuyimba ez’amasomero ga Siniya mu Ssaza lya Kasana-Luweero. Empaka zino zatuumibwa ‘Sacred Music Festival’. Zaali mu Fatima Sharing Hall ku kitebe ky’Essaza e Kasana. Okusinziira ku Fr. Charles Ssen-kungu nga yakulira enteekateeka zino y’ategeeza nti zibeerawo buli mwaka. Era Amasomero gonna aga siniya gabeera galina okuzeetabamu. Wabula ‘Kasana’ yategeezebwa nti olw’obuzibu obukyanoonyerezeb-wako, agasinga tegasobola kuzeetabamu. Essomero lya St. Peter’s Sec. Sch. Bombo-Kalule lye lyokka eryaa-liwo. Kino tekyalobera mpaka zino kugenda mu maaso. Baayimba, babuuzibwa ebibuzo ebikwata ku kitabo

ekitukuvu okutuusa ebivuganyizibwaako bwebyag-gwaayo nga bwebyali bitegekeddwa. Omu ku baxsazi b’empaka zino Deacon Nsumba Lyazi y’agamba abayizi nti: “Okuyimba kwonna okutegekebwa Klezia kubeera n’ekigendererwa kya kusasaanya mawulire agasany-usa [Evanjiri].” Dn. Lyazi era y’alabula abayizi nti: “Bwemubeera muteekamu ebirungo mu nnyimba zino, muleme kuyitiriza kubanga, bwebisukka, ate bifuuka nga katemba, ekintu ekibeera kiggye amakulu g’empa-ka zino ku mulamwa.” Oluvannyuma Omusumba w’Es-saza lya Kasana-Luweero Paul Ssemogerere yabeebaza n’abakwasa ebikopo.

Page 7: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

7

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Abayizi ba St. Peter’s Sec. Sch. Bombo-Kalule nga bajaguza oluvannyuma lwa Bishop P. Ssemogerere

okubakwasa ebikopo

Deacon Nsumba Lyazi [ku ddyo] nga ali n’omusazi w’empaka omulala mu Fatima Sharing Hall nga

beetegereza abayizi

Abayizi ba St. Peter’s Sec. Sch. Bombo-Kalule nga bali ku siteegi

Rev. Fr. Charles Ssenkungu omutegesi w’empaka zino nga ayogerako eri abaali bakungaanye mu Fatima Sharing Hall

Abayizi ba St. Peter’s Sec. Sch. Bombo-Kalule mu kifaananyi n’Omusumba P. Ssemogerere nga

basanyuka oluvannyuma lw’obuwanguzi

Page 8: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

8

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Olukungaana lw’abavubuka luleme kutubuzisa muliro, Fr. Dr. L. Kimbowa akuutidde akakiiko akategeka ekijaguzo ky’Essaza eky’emyaka 25

Ku Lwokutaano nga 31 May, 2019 abakiise ku kakiiko akateekebwawo okuteekateeka ekijaguzo ky’Essaza lya Kasana-Luweero eky’emyaka 25 bukyanga litondebwaawo baddamu okusisinkana. Ensisinkano eno yali ku Pope John Paul II Pastoral Centre [PJPII-PC] e Kasana. Ssentebe w’akakiiko ako Rev. Fr. Dr. Lawrence Kizito Kimbowa ya’ategee-za ba mmemba nti: “Mukimanyi bulungi nti tuli mu kuteekateeka kijaguzo eky’emyaka 25, ate guno omwaka Essaza neriweebwa obuvunaanyizibwa obulala okuteekateeka olukungaana lw’Abavubuka [National Youth Conference].” Fr. Kimbowa y’agamba nti wewaawo ba mmemba abamu abali ku kano akakiiko ate bali ne mu nteekateeka z’abavu-buka, naye yadde biri bityo tebasaanye kubuliza ddala muliro, betaaga okusigala nga ebitesebwaako bitunulwaamu.Y’asaba abakiise okwongera okusosowaza omulamwa gwa gw’ekijaguzo [Silver Jubilee] oguvuga nti: Tunnyikire, Tukole, Tujaguze.

Fr. Dr. Lawrence Kizito Kimbowa nga ayogerako eri olukiiko oluteekateeka ‘Silver Jubilee’ y’Essaza

Aba Caritas bayonjezza ekibuga ky’e KiwokoKu Lwokutaano nga 7 June 2019, ab’ekitongole kya Caritas Kasanaensis baayonja ekibuga ky’e Kiwoko mu Parish y’Essaza lya Kasana-Luweero ey’e Kiwoko. Kw’olwo yeeyali entikko ya Ssabbiiti eyatuumibwa ‘Bulungi bwansi week’. Eno yali yatandika ku lwa nga 3 June. Ku ntikko y’emu, aba Caritas kwebeegattira

ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’obutonde bw’Ensi [World Environment Day]. Mu birala ebyaakolebwa, mwemwali okusimba Emiti n’okusomesa abatuuze ku ngeri y’okukungaanya kasasiro ate basobole okumugg-yamu emigaso emirala.

Abayizi nga basimba emitiFr. Hilary Muheezangango n’abavubuka nga balonda

kasasiro wakati mu kugogola ekibuga Kiwoko

Page 9: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

9

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Fr. Hilary Muheezangango [ataddeko enkofiira emyuufu] nga ayogerako eri bannakiwoko nga beetegekera okutandika okuyonja

Okutendereza obulungi, kitukakatako ffenna, buli omu, okwegatta ku Kristu tusobole okwewaayo nga ekitambiro ekisanyusa Katonda waffe

BAGANDA BANGE MWEGAYIRIRE Katonda Patri Omuyinza wa buli kantu asiime ekitambiro nze nam-mwe kye tumuwereza”.Bulijjo mu Missa, amangu ddala nga Omutambizi Omukulu y’aka-mala okuwaayo Omugaati n’Ev-viini ebigenda okufuuka Omubiri n’Omusaayi gwa Kristu, era y’aka-mala okunaaba mu ngalo, ayita abantu bonna abakungaanye mu Missa okwegayirira Katonda asiime ekitambiro, ye (aliwo mu linnya lya Kristu) n’abakkiriza abaliwo kye bamuwereza. Omutambizi Omuku-lu, oba tugambe nti ‘Kristu yeeyam-bisa eddoboozi ly’Omutambizi oku-koowoola abantu bamwegatteko’. Mumboozi yange njagala ku luno twebuulirireko ku kirowoozo kino eky’ekitambiro. Tujjukira nti Kristu yeetambirira Ka-tonda Kitaawe ku Musaalaba okutu-

lokola, ku Kalivaaliyo. Buli mulundi Missa lw’esomebwa, Kristu addamu nate okwetambirira Katonda; oba tugambe nti “attukiza’ ekitambiro kye kiri ku Kalivaaliyo, Mu kiro ek-yakulembera olwokutaano olutuku-vu Kristu yawa abatume ekiragiro: “Kino mukikolanga okunzijukira”. Buli Missa, tuddamu nate okujjukira n’okukuza eky’amagero ky’ekitam-biro kya Kristu.Omutambizi Omukulu nga aw-ereza ekitambiro kya Missa, mu linnya lya Kristu, akowoola ekibiina ky’abakkiriza nti: “Baganda bange mwegayirire Katonda Omuyinza wa buli kantu asiime ekitambiro nze nammwe kye tumuwereza”. (Naye mu lungereza kiri “my sacrifice and yours”. Ekitambiro ekyange n’ekya mmwe; era ne mu lulattini: meum ac vestrum). Omutambizi ayogera mu linnya lya Kristu, ate abantu

abalala beegatta ku mutambizi omukulu era bagatta ebitambi-ro byaabwe ku kya Kristu. Kristu yeewereza buterevu eri Katonda, sso nga abantu bo balina kuyita mu Kristu.Buli June nga 3, tulamaga e Namu-gongo okukuza olunaku lw’Aba-julizi. Oba tugambe tulamaga e Numugogo okusiima Abajulizi olw’okuba nti beewaayo nga ekitambiro, era Katonda n’asii-ma ekitambiro kyaabwe. Nnyaffe Ekereziya yakakasa nti ekitambiro kyaabwe kyaasiimibwa Katonda nga ebalangirira n’ebayita ‘Abajulizi Abatuukirivu -faithful witnesses in heaven’, n’ebatuwa nga eky’oku-labirako. Mu ngeri y’emu mu July tulamaga e Waluleeta ne Lukumbi nga twebaza Katonda olw’ekirabo ky’Abajulizi Kizito Omuto ate ne Denis Ssebuggwaawo.

Biwandiikiddwa Fr. Celestine Byekwaso

Page 10: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

10

KASANA JULY 2019, BULLETIN

To offer a sacrifice pleasing to the Father, we have to join our sacrifices to Christ, writes Rev.

Fr. Celestine Byekwaso“PRAY BRETHREN that my Sacrifice and yours may be acceptable to God the Almighty Father.” During the mass, soon after the presentation of Bread and Wine, the main celebrant invites the as-sembly in those words: “Pray breth-ren…” In our Liturgy series articles, this time I want to share with you on this idea of our sacrifice. Jesus offered a sacrifice of Himself to the Father on the Altar of the Cross, on Calvary. The night before – Holy Thursday – He had anticipated the Command: “Do this in memory of me”. During the mass, the priest, standing in the name of Christ, offering the Sacrifice of the mass, in the name of Christ, or better, Christ through the person of the priest, invites the assembly saying “Pray brethren, that ‘my sacrifice’ and ‘yours’ …” The priest speaks not in his name, but in the name of Christ. He invites the gathered assembly that Christ’s sacrifice, and of the assembly’s sacrifice may be acceptable by the Father. Jesus offers His sacrifice of the mass. The priest invites the assembly to add their sacrifice. What is the sacrifice of the assembly? Each person offers

himself/herself as a sacrifice pleas-ing to the Father. Every year on 3rd June, we cele-brate the Feast of the Martyrs of Uganda. We honor the Martyrs because they sacrificed themselves. They offered their lives and bodies as living sacrifices pleasing to God. God accepted their sacrifices and blessed them. Their sacrifices were so pleasing to God, that today we honor them as Martyrs. The Church acknowledges that the sacrifice these Martyrs offered, was pleasing to God and that is why they were canonized. Every July, Kasana-Luweero Dio-cese makes a pilgrimage to Walu-leeta, to honor St Kizito. The young Kizito is greatly honored because he sacrificed his life for God. His sacrifice was pleasing to God. It was accepted. It made him a saint. We also make a yearly pilgrimage to Lukumbi, in Kiwoko parish to honor another Martyr. We honor all these Martyrs because their sacrifices were pleasing to God. These Martyrs show us the strength of a pleasing sacrifice to God. In a similar way, always during the mass the assembly (gathered people) is

called to pray that their sacrifice and that of Christ – represented by a visible priest – may be acceptable by the Father. The priest perpetu-ates (or ‘continues’ in simple lan-guage) Christ’s sacrifice. All the rest of the people at mass join Christ with their sacrifices. To the invitation of the priest, the assembly respond saying: “May the Lord accept the sacrifice at your hands, for our good and the good of the whole Church.First, they (assembly) pray that the sacrifice of Christ be accepted. Sec-ond, they pray that that sacrifice be accepted ‘for our good’ (meaning those present at that mass), and then for the good of the whole Church of Christ including all those faithful who are at his particular mass. The sacrifice of the mass, is not only for those present at that celebra-tion, but indeed, for the good of the Church, all-over the world.Conclusion:To offer a sacrifice pleasing to the Father, we have to join our sacrifices to Christ, for “In Him we live, and move and have our being” (Acts 17:28).

Mu kwanukula Omutambizi Omukulu ekibiina ky’abakkiriza ekikungaanye (gathered assembly) kigamba nti: “Omukama ekitambiro ekyo akisiime, akiggye mu mikono gyo akitwale, kimuviiremu ettendo n’ekitiibwa, naffe kitugase awamu n’Ekereziya we yenna omutuku-vu”. Mu bufunze: (1) Tuwanjagira

Omukama asiime ekitambiro ekyo, era akitwale era kimuwese ettendo n’ekitiibwa. (2) Tusaba ate naffe kitugase mu bw’omuntu bwaffe kitusobozese okufuna bye twetaa-ga. (3) Tuwanjaga nti ssi ffe ffekka abakungaanye, naye n’abakkiriza abalala bonna, eyo gye basaasanid-de, wadde tebali mu Missa eyo.

Okufundikira: Okutendereza ob-ulungi, kitukakatako ffenna, buli omu, okwegatta ku Kristu tusobole okwewaayo nga ekitambiro eki-sanyusa Katonda waffe, anti mu ye, “ku bubwe tuba balamu, tutambu-la, tubeerawo” (Acts 17:28

Abavubuka babuzaayo Parish 4 mu kutambuza Omusaalaba gw’olukungaana lwaabwe

Wetwamaliddeko Omwezi gwa June nga Abavubuka batuusizza Omusaalaba mu Parish y’eNam-aliga. Parish envannyuma ku eno okufuna Omusaalaba guno yabadde y’eNandere. Mky. Hilda Nakafeero

kayungirizi w’emirimu mu wofiisi y’abavubuka mu Ssaza lya Kasa-na-Luweero y’ategeezezza ‘Kasa-na’ nti: “Omusaalaba twamaze okugutuusa e Namaliga, ab’eNan-dere olwagutadde, netugukwasa

ab’eNamaliga.”Yagasseeko nti: “Kaakati tuli mu Deanery y’eKasa-na, era kati tubuzaayo Parishes 4 okumalako Essaza lyonna eririmu Parishes 19. Ennya ezibulayo kuliko: ey’eKalule, Katikamu, Kasana ne

Page 11: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

11

KASANA JULY 2019, BULLETIN

Kasaala.” Gyebuvuddeko yanny-onnyola amakulu g’okutambuza omusaalaba guno: “Okusingiradd-ala kunnyikiza kukkiriza kwaffe, era bwetuba tugutambuza, tukyama mu Maka ag’enjawulo. Omusa-

serdooti akulemberamu Essaala oluvannyuma abantu baawo nebat-wanjulira kyebabeera besonzeemu okudduukirira enteekateeka z’olukungaana lwaffe.” Olukungaa-na olwogerwaako [National Youth

Conference NYC] lwakubeerawo okuvanga 10 December okutuu-kanga 15 December 2019 kukitebe ky’Essaza e Kasana.

Omuwala nga yeetisse Omusaalaba nga awerekerwaako banne mu kugutambuza okwolekera

Parish y’e Namaliga

Okutambuza Omusaalaba nga kunyinyitidde okwolekera Parish y’e Namaliga. [Ku ddyo] ye

Ssaabavubuka w’Essaza Mw. Matthias Ssewanyana.

Empaka z’emizannyo zitandise mu keetereekerero k’olukungaana lw’Abavubuka

Abavubuka okuva mu Parishes ez’enjawulo mu Ssaza lya Kasana-Luweero baatandise dda okuvuganya mu mizannyo egy’enjawulo omuli okusamba akapiira, oku-baka n’emirala mu ketereekerero k’olukungaanalwaabwe. Olukungaana olumayiddwa nga National Youth Conference [NYC] lwaakubeerawo okuva nga 10 December okutuukanga 15 December 2019 kukite-be ky’Essaza e Kasana. Mky. Hilda Nakafeero nga ye kayungirizi w’emirimu mu wofiisi y’abavubuka mu Ssaza y’ategeezezza ‘Kasana’ nti: “Emizannyo gy’atan-

dise, era eno ye puloggulaamu wammanga: kumuten-dera gwa Deanery nga 6 July. Ekiddako ku lwa nga 27 July Deaneries zigenda kukwatagana. Oluvannyuma ku lwanga 14 September waakubeerawo ezaakamaririzo e Kasana. Ate ku lwanga 19 September, Abasaserdooti-baakusamba akapiira n’ababaka ba Paalamenti.Mky. Nakafeero era yategeeza nti: “Emizannyo gino twagiteekawo nga ekimu kubituyamba okukunga abavubuka okwetegeka basobole okwetaba mu lukungaana lwa December.”

Abavubuka nga battunka mu gumu ku mipiira egyazannyiddwa

Aba ttiimu ya Mijeera nga basanyuka n’Embuzi gye baabawadde oluvannyuma lw’okutimpula Nakasongola mu mpaka z’okusamba akapiira

Page 12: KASANA · 2019-07-07 · Omutukuvu Paapa Francis waakukikirirwa abakungu basindise okuva e Vatican. Abamu ku balamazi mu Missa nga 29 July 2018. 4 KASANA J 2019, BET Ku Ssande nga

12

KASANA JULY 2019, BULLETIN