kasana · congress ogwali ku pope paul vi memorial hotel mu ndeeba, kampala. yagwa n’afuna...

10
Kasana HEADLINES End! Mission Statement: Being faithful and relevant to the Church’s mission Vision: Crescamus in Vitam Christi [Eph. 4:13] Synod II Theme: “Deeper family Evangelization in Justice, Peace and Reconciliation for the growth in the life of Christ”. Ekigendererwa: Okubeera abesigwa era ab’omugaso mu butume bw’Eklezia Ekilubilirwa: Tukule mu bulamu bwa Kristu [Eph.4:13] Omulamwa gwa Sinodi II: “Okunnyikiza Evanjiri ey’Obwenkanya, Eddembe n’Okutabagana mu maka, tukule mu bulamu bwa Kristu” Theme 2017: Mu Mukama Yezu Kristu, Tugende mu maaso nga tukola Tuzimbe amaka gaffen’eklezia. (2 Thes. 3:12) December bulletin 2017 December bulletin 2017 1. Obubaka bw’omukungaanya 2. Olukiiko ttabamiruka luteesezza ku bikulu mu ssaza 3. Essaza lisabidde abafudde mukenenya 4. Abafumbo mubeere kyakulabirako-Bp. P. Ssemogerere 5. Ab’e Nandere balabuddwa ku kusinza ebitaliimu 6. Muve mu nzikiza, abakristu bakubiriddwa 7. Abaana basabidde banaabwe abattibwa obwemage 8. Abasomesa bakalaatiddwa ku buvunaanyizibwa bw’okugunjula abaana 9. Omuwandiisi mu wofiisi ya Lay Apostolate akoseddwa mu kabenje 10. Wofiisi z’essaza ziggulwaawo nga January 8 11. Essaza likiikiriddwa mu lukungaana lw’abavubuka e Kabale

Upload: others

Post on 05-Nov-2019

1 views

Category:

Documents


0 download

TRANSCRIPT

Page 1: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

Kasana

October bulletin 2017

HEADLIN

ES

1. Obubaka bw’Omukungaanya.2. Ugx 130m Raised on BAAFU Climax.3. BAAFU avuddemu obukadde 130.4. Ekijaguzo eky’emyaka 25 egy’essaza kitandise okutuuza abategesi

obufofofo. 5. Bishop P. Ssemogerere inaugurates Kalule Parish. 6. Parish y’e Kalule etongozeddwa.7. Abasaserdooti abaggya batendekeddwa.8. Newly ordained priests inducted.9. Newly Reconstructed Namayamba Sub-Parish Commissioned .10. Klezia y’e Namayamba empya egguddwaawo.11. Ssappule ekomekerezeddwa.12. Essaza lya kufuna Parish ey’e 19.13. Shs4m collected in Caritas corporate fundraising dance.14. Okulamaga kw’omwaka okwa ‘Central Province’ kuli Lugazi.15. Ayi Mukama Bawe Ekiwummulo Ekitaggwawo.16. Reciting the Rosary is fruitful.

nities to join in prayer, testimony of life and communion of goods, in responding to the vast and pressing needs of evangelization.Carrying out our mission with Mary, Mother of Evangelization10. Dear brothers and sisters, in carrying out our mission, let usdraw inspiration from Mary, Mother of Evangelization. Moved by the Spirit, she welcomed the Word of life in the depths of her humble faith. May the Virgin Mother help us to say our own “yes”, con-scious of the urgent need to make the Good News of Jesus resound in our time. May she obtain for us renewed zeal in bringing to everyone the Good News of the life that is victorious over death. May sheintercede for us so that we can acquire the holy audacity needed to discover new ways to bring the gift of salvation to every man and woman.From the Vatican, 4 June 2017Solemnity of Pentecost

End!Mission Statement: Being faithful and relevant to the Church’s missionVision: Crescamus in Vitam Christi [Eph. 4:13]Synod II Theme: “Deeper family Evangelization in Justice, Peace and Reconciliation for the growth in

the life of Christ”.Ekigendererwa: Okubeera abesigwa era ab’omugaso mu butume bw’EkleziaEkilubilirwa: Tukule mu bulamu bwa Kristu [Eph.4:13]Omulamwa gwa Sinodi II: “Okunnyikiza Evanjiri ey’Obwenkanya, Eddembe n’Okutabagana mu maka, tukule mu

bulamu bwa Kristu” Theme 2017: Mu Mukama Yezu Kristu, Tugende mu maaso nga tukola Tuzimbe amaka gaffen’eklezia.

(2 Thes. 3:12)

December bulletin 2017December bulletin 2017

1. Obubaka bw’omukungaanya2. Olukiiko ttabamiruka luteesezza ku bikulu mu ssaza3. Essaza lisabidde abafudde mukenenya4. Abafumbo mubeere kyakulabirako-Bp. P. Ssemogerere5. Ab’e Nandere balabuddwa ku kusinza ebitaliimu6. Muve mu nzikiza, abakristu bakubiriddwa7. Abaana basabidde banaabwe abattibwa obwemage8. Abasomesa bakalaatiddwa ku buvunaanyizibwa bw’okugunjula abaana 9. Omuwandiisi mu wofiisi ya Lay Apostolate akoseddwa mu kabenje10. Wofiisi z’essaza ziggulwaawo nga January 811. Essaza likiikiriddwa mu lukungaana lw’abavubuka e Kabale

Page 2: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

We strive to produce disciplined students.The school is located at Kakooge in Nakasongola along

Kampala-Gulu highway.

Students attendingPractical lessons inthe science Laboratory

Students attendingComputer Lessons

ST. ANTHONY SEC. SCH. KAKOOGE

P.0 Box 53 LuweeroMobile: 0782-890-750

Email: [email protected]: Discipline, Knowledge,

For details contact: 0782-103-649/ 0414-610-075

LUWEERO TEACHERS’ SACCO GARDENS Come hire our gardens for a memorable event:

We have spacious parking space colorful flowers

Silent environment all sorts of drinks all types of eats.

Page 3: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

1

KASANA-LUWEERO DIOCESE

December 2017 monthly bulletin

Contents

1. Obubaka bw’omukungaanya 2. Olukiiko ttabamiruka luteesezza ku bikulu mu ssaza3. Essaza lisabidde abafudde mukenenya4. Abafumbo mubeere kyakulabirako-Bp. P. Ssemogerere5. Ab’e Nandere balabuddwa ku kusinza ebitaliimu6. Muve mu nzikiza, abakristu bakubiriddwa7. Abaana basabidde banaabwe abattibwa obwemage8. Abasomesa bakalaatiddwa ku buvunaanyizibwa bw’okugunjula abaana 9. Omuwandiisi mu wofiisi ya Lay Apostolate akoseddwa mu kabenje10. Wofiisi z’essaza ziggulwaawo nga January 811. Essaza likiikiriddwa mu lukungaana lw’abavubuka e Kabale

Page 4: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

2

Bakristu baganda bange, mukulike omwaka 2017. Omukama tumwebaze akyatuwadde ekirabo eky’obulamu. Abafunye ebizibu eby’enjawulo twongere okumwekwasa atutangaazize omuggya ogwa 2018. Ate abatuuse ku birungu era naffe twongere okumutendereza.

Tutandise omwaka omuggya, nga essaza lyaffe erya Kasana-Luweero tulina bingi eby’okukola naddala okwekulaakulanya ggwe wamma

tugende okutuuka ku kijaguzo ky’emyaka 25 nga enkulaakulana gyetuliko yeeyo esaanidde. Ensonga eno tugisimbeko essira nga buli kyetukola kitukuza mu kukkiriza kwaffe. Nkwagaliza okusoma okulungi akatabo kaffe kano ‘Kasana’ ak’amawulire mwetukuleetedde ebikoze amawulire mu mwezi gwa December.

Mbaagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe ate ogujjudde enkulaakulana mu kukkiriza ate ne mu mbeera y’obulamu bwaffe obwa bulijjo. Bwoba olina ky’oteesa ku katabo kano ntuukirira ku ndagiriro eno wammanga:

Bernard Bakalu 0773-058-220/ 0701-399-026 [email protected]

ObubakaObubaka bw’omukungaanyabw’omukungaanya

Page 5: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

3

Olukiiko ttabamiruka olw’essaza lya Kasana-Luweero lwatuula okumalira ddala ennaku ssatu okuva nga December 10 okutuuka December 13, 2017 okuteesa ku nsonga enkulu mu ssaza. Olukiiko luno olwali ku ssomero lya St. Andrews Kaggwa Secondary School-Kasaala lwetabwamu Omusumba w’essaza Paul Ssemogerere, Msgr. Matthias Kanyerezi n’ abasaserdooti abawererako ddala.

Mungeri y’emu lwalimu abakulembeze mu ssaza ku mitendera egy’enjawulo. Ensonga ezateesebwako mwe mwali okulongoosa eby’enjigiriza mu masomero agali ku musingi gw’eKlezia, okwongera okusaka ensimbi essaza lyezetaaga okutambuza emirimu, ensonga z’ettaka lya Klezia n’ebirala bingi.

Mu kukomekkereza, Omusumba yakwasa parishes certificate olw’okusonda BAAFU. Parish y’e Katikamu yeeyalangilirwa nga eyanywa mu zinaazo akendo nga yakwasibwa ekikopo. Ate Parish y’e Kakooge yeeyasinga mu kuwa quota nayo n’ekwasibwa Ente. Kyategeezebwa nti mu kusonda BAAFU ku luno tewali Parish yakka wansi wa shs 2m. [Ebyava mu BAAFU byakufulumizibwa mu bujjuvu mu katabo k’omukolo gw’olunaku lw’essaza mu March 2018]. Mu ttabamiruka y’omu akakiiko akatondebwawo omwepiskoopi okuteekateeka ekijaguzo ky’essaza eky’emyaka 25 mu 2022 mwekaalagibwa eri abakiise nga sentebe waako ye Rev Fr. Dr. Lawrence Kizito Kimbowa. Abamu ku bakiise mu lukiiko

Olukiiko ttabamiruka luteesezza ku bikulu mu ssaza

Page 6: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

4

December 1, 2017 ensi yon-na lwe lunaku lw’ejjukirirako abantu abafudde awamu n’abo abatawaanyizibwa mukenenya. Emikolo nga bulijjo gyakoleb-wa okwetoloola ensi yonna ne wano mu ggwanga lyaffe. Mungeri y’emu n’essaza lya Kasana-Luweero lyategekawo okusaba okwenjawulo okuku-

Fr. Jude Masembe nga asitudde ekikopo oluvannyuma lwa Parish ye okuwangula Nga mu kusonda BAAFU wa 2017.

Essaza lisabidde abafudde mukenenya

za olunaku luno okwetabwamu abakozi b’essaza. Okusaba kuno kwategekebwa ku wofiisi z’essa-za. Rev. Fr. Dr. Gerald Wamala yeeyakukulemberamu. Waaliwo okukoleeza emisubbaawa nga akab-onero okukuutiriza omukolo. Nga December 30, waaliwo okukebeza omusaayi okwategekebwa HIV Focal Office y’essaza.

13

Nga December 22, 2017 woofisi z’essaza zaggalwawo, abakozi ne-basindikibwa mu luwummula lw’ennaku enkulu okuli olw’amazaalib-wa, okumalako omwaka n’okwaniriza omuggya. Akulira abakozi mu ssaza Rev. Fr. Francis Xavier Mpanga [Chancellor] yategeeza ku kaba-ga akasiibula abakozi nga kaategekebwa ku Pope John Paul II Pastoral Centre Gardens nti wofiisi ziggulwawo nga January 8, 2018.Omusumba Paul Ssemogerere atwala essaza naye akabaga yakeetabako.

Page 7: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

12

Olukungaana lwatuuzibwa ku Rushoroza Cathedral Parish. Eno

baakulungulayo ennaku 7 okuva nga December 11 okutuuka nga December 17, 2017. Beetaba

mu bikolebwa bingi omwali Missa, baalambula ebifo omuli ennyanja Binyonyi saako n’e Katuna ku nsalo ya Uganda n’e Rwanda. Mu mwaka gwa 2016 olukungaana bweruti lwaali mu ssaza ly’e Jinja, omwaka ogutandise ogwa 2018 kyalaangiriddwa nti lwakubeera mu ssaza ly’e Nebbi.

Omusumba P. Ssemogerere nga ali mu kifaananyi ekyaawamu n’abamu ku bavubuka abeetaba mu lukungaana e Kabale.

Wofi isi z’essaza ziggulwaawo nga January 8

5

Ebikumi n’ebikumi by’abafumbo byeeyiwa ku Parish y’e Ngoma okwetaba ku bikujjuko by’okukuza olunaku lw’abafumbo mu ssaza. Omukolo guno gwaaliwo nga December 3, 2017. Bweyali ayigiriza mu Missa, Bishop Paul Ssemogerere atwala essaza lya Kasana-Luweero yakuutira abafumbo okukola ebikolwa ebirungi basobole okubeera eky’okulabirako eri abo abatanaba kufuna bufumbo.

Fr Gerald Wamala owookubiri okuva ku ddyo nga ali n’abalala mu kus-abira abafudde mukenenya.

Muno yamenya eky’okuwangana ekitiibwa, okukuza abaana mu ddiini era nga bampisa nnungi. Yategeeza nti kikulu nnyo amaka okubeeramu emirembe nga abafumbo baagalana era nga bategeeragana kubanga olwo Eklezia nayo lwejja okubeera enzigumivu. Ssabafumbo w’essaza Mr Bisaso Aloysious ne Nnabafumbo Jane Gamyuuse baategeeza mu alipoot yaabwe nga abakyali mu bufumbo

Abafumbo mubeere kyakulabirako-Bp. P. Ssemogerere

Page 8: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

6

obw’ensonga bwebakyali abangi. Abafumbo baatoneragana ebirabo. Kyategeezeba nti olunaku lw’abafumbo olw’omwaka ogujja [2018] lwakubeera mu Parish y’e Kijaguzo. Nga December 10, 2017 kyali kijjobi nga parish y’e Nandere ekuza olunaku lwaayo. Ebikujjuko by’atandika n’ekitambiro kya Missa ekyakulemberwamu Omusumba w’essaza lya Kasana-Luweero Paul Ssemogerere. Mu kuyigiriza, yalabula abakkiriza ku ky’okusinza ebitaliimu nga muno mwemuli okugenda mu masabo n’ebirala. Waaliwo ba Frs Paul Nsubuga ne Cyprian Masembe abaali bajaguza emyaka 50 mu busaserdooti. Yagatta emigogo gy’abagole 5, naawa n’abaana 67 esakramentu lya konfi rmansio. Oluvannyuma lwa

Bishop P. Ssemogerere nga agatta omugogo gw’abagole mu Missa kwol-wo.

Ab’e Nandere balabuddwaku kusinza ebitaliimu

11

ebyo. Wabula wetwamariddeko omwaka nga atandise okulinyalinyamu kko. “Nsuubira ngenda kutereera kubanga ntandise okusimba ku magulu,” bweyategeeza ‘Kasana’ mu kafubo ku mbeera ye.

Mu mwaka gwa 2017 olukungaana lw’abavubuka [Annual Youth Conference] olubeerawo buli mwaka lwaali mu ssaza ly’e Kabale. Olukungaana luno lwetabwamu

Musomesa Charles Nsereko [ku ddyo] nga Fr Joseph Nsereko amukyaa-liddeko mu makaage e Bamunanika mu biseera by’ennaku enkulu.

Essaza likiikiriddwa mu lukungaana lw’abavubuka e Kabale

abavubuka okuva mu massaza gonna agali mu ggwanga. Okusinziira ku Ssaabavubuka w’essaza lya Kasana-Luweero Matthias Ssewanyana abavubuka 5,600 beebalwetabamu. Abaakiikirira essaza lya Kasana-Luweero yategeezezza nti baali 30 n’okusingira ddala abakulembeze. Omusumba w’essaza lya Kasana-Luweero era nga ye sentebe wa Lay Apostolate ku Uganda Episcopal Conference Rt. Rev. Paul Ssemogerere naye yalwetabamu.

Page 9: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

10

Y’asinziira mu Missa mu lutikko y’e Kasana nga essaza likuza olunaku lw’abasomesa olwaliwo nga December 30, 2017. Oluvannyuma yagabula abasomesa mu makaage.

Musomesa Charles Nsereko omuwandiisi mu wofiisi ya Lay Apostolate y’essaza lya Kasana-Luweero ali ku ndiri mu makaage e Bamunanika mu

Omusumba P. Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasomesa okusala Cake mun kukuza olunaku lwaabwe

Omuwandiisi mu wofi isi ya Lay Apostolate akoseddwa mu kabenje

Parish y’e Mulajje oluvannyuma lw’okumenyeka amagulu mu kabenje k’ekidduka. Mwami Nsereko akabenje yakafuna ku Sunday nga October 14, 2017 okuliraana Ambiance Hotel e Bukesa ku ssaawa nga ssatu [9.am]. Yali avuga pikipiki okudda ewaka nga ava mu musomo gwa PMS Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago

7

Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza ekizimbe ekiggya nga ye Parish Hall. Omusumba w’essaza lya Kasana-Luweero Paul Ssemogerere yasinziira mu kuyigiriza nga December 25, 2017 mu Missa y’amazaalibwa mu lutikko y’e Kasana n’akubiriza abakristu okuva

Omukulu w’ekifo ky’e Nandere Fr. Joseph Mary Kavuma nga aggulawo oluggi lwa Parish Hall nga Omusumba P. Ssemogerere alindiridde okugiwa omukisa.

Muve mu nzikiza, abakristu bakubiriddwa

mu kizikiza badde mu kitangaala kya Kristu. Bishop Ssemogerere yagamba nti ebikolwa eby’ekizikiza bisusse mu bantu omuli ettemu, obubbi, obulimba n’ebirala bingi ebisaanye okuvumirira. Yagamba nti obudde bw’amazaalibwa bwa famire, n’ategeeza nti buli omu asaanye abumale ne famire nga

Page 10: Kasana · Congress ogwali ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba, Kampala. Yagwa n’afuna ebisago 7 Missa, Bishop Ssemogerere nga yeegattiddwaako abasaserdooti yagenda n’atongoza

8

batunula mu nsonga eziyinza okunyikiza emirembe. Lutikko y’e Kasana mweyayogerera bino ku Ssekukkulu yali ekubyeeko abakkiriza. Parish ez’enjawulo mu ssaza lya Kasana-Luweero zaawereza abaana mu bungi ku kitebe ky’essaza e Kasana nga December 28, 2017 okwetaba ku bikujjuko

Bp. P. Ssemogerere nga awa omwana omukisa oluvannyuma lwa Missa y’amazaalibwa

Abaana basabidde banaabwe abattibwa obwemage

by’okukuza olunaku lwabwe mu ssaza. Omusumba w’essaza lino Paul Ssemogerere yasooka kukulembera Missa mu lutikko nga muno bweyali ayigirizayategeeza nti lukulu nnyo kubanga kwebajjuukirira abaana abaafira obwemage nga battibwa Kabaka Herode bweyali ayigga omwana omuto Yezu eyali yaakazaalibwa. Kabaka Herode yali attidde nti yandimutwalako entebe ye. Bishop Ssemogerere

9

Abasomesa bakalaatiddwa ku buvunaanyizibwa bw’okugunjula abaana

yavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abaana ebiriwo akakyo kano omuli okubasobyako, okubasiibya enjala okubatemula, okubasadaaka,

mungeri n’avumirira abakazi abagyamu embuto n’agamba nti ate bano baasusse ne ku butemu obwakolebwa Kabaka Herode. Oluvannyuma Omusumba yagabula abaana ku Pope John Paul II Pastoral Centre. Omusumba w’essaza lya Kasana-Luweero Paul Ssemogerere yakalaaatidde

Bp. P. Ssemogerere mu kifaananyi ekyawamu n’abaana wabweru wa lutikko y’e Kasana oluvannyuma lwa Missa.

abasomesa b’eddiini [Catechists] mu ssaza ku kyayise okwesuulirayo ogwa nnagamba nga abaana basiiwuuka empisa. Yasinga kwennyamira ku kyeyagamba nti abaana beenyigira mu bikolwa by’obukaba awatali kubakuba ku mukono. Kuno nga kw’otadde n’emize emirala abaana nebakula nga ba mawale.